Jeremiah 51:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye alayidde obulamu bwe nti: ‘Ndikujjuza abantu akeesedde ng'enzige, balikukubira obuluulu olw'obuwanguzi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe; ddala ndikujjuza abasajja, ng’ebibinja by’enzige, era balireekaana nga bakuwangudde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama w'eggye yeerayidde yekka ng'ayogera nti, Mazima ndikujjuza abasajja bangi nga bulusejjera, era balikukuba olwogoolo, nga bawangudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye alayidde obulamu bwe bwennyini nti alireeta abasajja abangi ng'enzige, okulumba Babilooni, era balikuba olwogoolo nga bawangudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama w'eggye yeerayidde yekka ng'ayogera nti Mazima ndikujjuza abasajja nga bulusejjera; era balikukuba olwogoolo.