Jeremiah 51:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola enkulungo y'ensi n'amaanyi ge; yabangawo ensi n'amagezi ge; n'okutegeera kwe n'abamba olubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ensi yagikola n’amaanyi ge; yagiteekawo n’amagezi ge, n’ayanjuluza eggulu n’okutegeera kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama yakola ensi n'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna n'amagezi ge, era yabamba eggulu n'okutegeera kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye w'obuyinza eyatonda ensi. Ye w'amagezi n'okutegeera eyanyweza byonna, era eyabamba eggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakola ensi n'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna n'amagezi ge, era yabamba eggulu n'okutegeera kwe: