Jeremiah 51:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'abwatuka, amazzi ku ggulu ne gayira; alinnyisa ebire okuva ku nkingi z'ensi; akola eraddu okuwa enkuba, era y'aggyayo empewo mu mawanika ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma; ayimusa ebire okuva ku nkomerero y’ensi. Amyansisa eggulu mu nkuba era n’aggya empewo mu mawanika ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwafulumya eddoboozi lye, wabaawo oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa olufu okuva ku nkomerero z'ensi; aleeta okumyansa mu nkuba ng'etonya, era aggya embuyaga mu mawanika ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'awa ekiragiro kye, amazzi agali mu bbanga gawuluguma. Akuŋŋaanya ebire okuva mu nsonda zonna ez'ensi. Aleeta okumyansa mu nkuba ng'etonnya. Era aggya embuyaga mu mawanika ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'aleeta eddoboozi lye, wabaawo oluyoogaano olw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge.