Jeremiah 51:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muntu mubuyabuya, talina ky'amanyi; buli musaanuusa wa zaabu aswala olw'ekifaananyi kye. Ebifaananyi bye ebisaanuuse ebya balubaale bulimba busa, mu byo temuli mukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera; Buli muweesi aswadde olw’ebifaananyi bya bakatonda by’akoze n’emikono gye. Ebifaananyi bye bya bulimba; tebirina mukka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu musiru era talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ebifaananyi bye ebyole byaweesa bimukwasa ensonyi; kubanga ebifaananyi ebyo bulimba, so mu byo temuli mukka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna basirusiru, tebaliiko kye bamanyi. Abakola ebifaananyi ebisinzibwa bibakwasa ensonyi, kubanga bye bakola temuli nsa, era tebirina bulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ekifaananyi kye ekyole kimukwasa ensonyi: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so mu byo temuli mukka,