Jeremiah 51:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oyo Omugabo gwa Yakobo tafaanana ebyo, kubanga ye yakola byonna omuli ne Yisirayeli, ekika ky'obusika bwe, Omukama w'Amagye lye linnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano, kubanga yakola ebintu byonna, nga mwotwalidde n’eggwanga ly’omugabo gwe, n’erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo, kubanga oyo ye yakola ebintu byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe; Mukama w'eggye lye linnya lye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda wa Yakobo tafaanana ng'ebyo, kubanga ye, ye yakola buli kintu. Era yalonda Abayisirayeli okuba abantu be. Mukama, Nnannyinimagye, lye linnya lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo: kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe: Mukama w'eggye lye linnya lye.