Jeremiah 51:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babiloni nzija kumusindikira abagwira; bagenda kumuwewa, bavunjage ensi ye; bagenda kumuzingiza ku njuyi zonna ku lunaku olw'akabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndituma abagwira e Babulooni bamuwewe era bazikirize ensi ye; balimulumba ku buli luuyi ku lunaku olw’okuzikirira kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndisindika e Babbulooni bannamawanga ne bakizikiriza, n'ensi ye baligikaliza, bwe baligirumba okuva ku njuyi zonna, ku lunaku olw'okulabiramu ennaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndisindika bannamawanga e Babilooni ne bakizikiriza, nga kibuyaga akuŋŋunsa ebisusunku. Olunaku olwo olw'akabi bwe lulituuka, balirumba okuva ku buli ludda, eggwanga ne balimalamu ebintu byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditumira Babulooni bannaggwanga balikiwujja; n'ensi yaakyo baligimalamu byonna: kubanga balikirumbira enjuyi zonna ku lunaku lw'okulabiramu ennaku.