Jeremiah 51:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nkuli bukiika, ggwe olusozi olusaanyaawo, ggwe azikiriza ensi yonna,” Omukama y'agamba, “nzija kukugololerako omukono gwange, nkuyiringise wansi okuva ku bbanga, nkufuule olusozi olusirisse omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza, mmwe abazikiriza ensi yonna,” bw’ayogera Mukama. “Ndikugolererako omukono gwange, nkusuule ku mayinja g’ensozi, nkufuule olusozi olutakyayaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba, ndi mulabe wo, ayi olusozi oluzikiriza, bw'ayogera Mukama, oluzikiriza ensi zonna; era ndikugololerako omukono gwange, ne nkuyiringisa okuva ku mayinja, era ndikufuula olusozi olwaggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe Babilooni, oli ng'olusozi oluzikiriza ensi yonna. Naye Nze Mukama ndikulwanyisa. Ndikukwatako engalo, ne nkumulungula, ne nkufuula vvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi oluzikiriza, bw'ayogera Mukama, oluzikiriza ensi zonna: era ndikugololerako omukono gwange, ne nkuyiringisa okuva ku mayinja, era ndikufuula olusozi olwaggya.