Jeremiah 51:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebalikuggyamu jjinja lya mu nsonda, wadde ejjinja ery'okussa mu musingi; wabula oliba matongo ag'emirembe gyonna,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda, wadde ejjinja lyonna okukola omusingi, kubanga olibeera matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tebalikuggyako jjinja okuba ery'oku nsonda, newakubadde ejjinja ery'omusingi; naye onoobanga matongo emirembe gyonna, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebalikuggyako jjinja kulizimbisa. Onoobanga matongo ga lubeerera. Nze Mukama, Nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebalikuggyako jjinja okuba ensonda, newakubadde ejjinja ery'emisingi; naye onoobanga matongo emirembe gyonna, bw'ayogera Mukama.