Jeremiah 51:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ekankana, yeenyoola olw'obulumi, kubanga entegeka y'Omukama ku Babiloni ekyatuukirira: ensi y'e Babiloni okugifuula amatongo nga temuli n'asulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi, kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka, okuzikiriza ensi ya Babulooni waleme kubaawo agibeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi ekankana era yeetoloolera mu bulumi, kubanga ebyo Mukama bye yamalirira okukola Babbulooni, ajja kubituukiriza, okufuula ensi y'e Babbulooni amatongo, nga tewali agibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi ekankana n'ejjula obulumi, kubanga Mukama ajja kutuukiriza kye yamalirira, okufuula Babilooni amatongo omutabeera muntu n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ensi ekankana, erumwa: kubanga ebyo Mukama bye yamalirira eri Babulooni binywera, okufuula ensi y'e Babulooni amatongo, nga tewali abeeramu.