Jeremiah 51:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulasi tomukkiriza kuweta musaale gwe, na kussaako kizibawo kye eky'ekyuma, n'abavubuka be temubataliza, wabula eggye lyonna mulizikirize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulasi talikuba busaale bwe, taliyambala wadde ebyambalo bye ebyokulwanyisa. Temusonyiwa batabani be; muzikiririze ddala amaggye ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuleka mulasi kunaanula mutego gwe, era temumuleka kuyimirira ng'ayambadde ekizibawo kye eky'ebyuma. Temusonyiwa balenzi baamu, muzikiririze ddala eggye lyamu lyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuganya baserikale baalyo kulasa busaale bwabwe, wadde okwambala ebizibawo byabwe eby'ekyuma. Temutaliza bavubuka baalyo. Musaanyeewo eggye lyalyo lyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulasi aleme okunaanuula omutego gwe, so aleme okweyimusa ng'ayambadde ekizibawo kye eky'ebyuma; so temusonyiwa balenzi baamu; muzikiririze ddala eggye lyamu lyonna.