Jeremiah 51:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bamatalisi bagobagana bugobaganyi, ababaka bagobagana bugobaganyi, okuleetera kabaka w'e Babiloni amawulire nti ekibuga kikwatiddwa ku njuyi zonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Matalisi omu agoberera omulala, omubaka omu n’agoberera munne, okulangirira eri kabaka w’e Babulooni nti ekibuga kye kyonna kiwambiddwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubaka omu adduka okusisinkana ne munne, era n'omubaka omu asisinkana omulala, okutegeeza kabaka w'e Babbulooni ng'ekibuga kye bwe kimenyeddwa enjuyi zonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ababaka bajjira kumukumu okutegeeza kabaka wa Babilooni ng'ekibuga kye bwe kimenyeddwa enjuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Matalisi omu aliddukana okusisinkana ne munne, n'omubaka omu okusisinkana ne munne, okunnyonnyola kabaka w'e Babulooni ng'ekibuga kye kimenyeddwa enjuyi zonna: