Jeremiah 51:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Muwala wa Babiloni ali ng'egguuliro ku lunaku lwe balirinnyirira; ebbanga lisigadde ttono obudde bwe obw'okukungulibwa butuuke.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Muwala wa Babulooni ali ng’egguuliro, mu kiseera w’analinnyiririrwa; ebiseera eby’okumukungula binaatera okutuuka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Abantu be Babbulooni baliŋŋaanga egguuliro, mu biseera mwe balisambiriramu, so nga mu kiseera kitono ebiro eby'okukunguliramu bituuke.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akaseera kasigadde katono omulabe alinnyirire ab'omu Babilooni ng'eŋŋaano mu gguuliro. Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Omuwala wa Babulooni aliŋŋanga egguuliro mu biro lwe balisambiramu; ekyasigaddeyo ekiseera kitono ebiro eby'okukunguliramu birikituukira.