Jeremiah 51:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obukambwe obwankolwako ne ku baana bange buli ku Babiloni,” abantu b'omu Babiloni bwe bagamba; “Omusaayi gwaffe gubeere ku abo abasula mu Kaludeya,” n'ab'omu Yeruzaalemu bwe bagamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,” bwe boogera abatuula mu Sayuuni. “Leka omusaayi gubeere ku abo ababeera mu Babulooni,” bwayogera Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obukambwe obwankolwako n'abantu bange bubeere ku Babbulooni, Abatuula mu Sayuuni boogera nti, ‘Omusaayi gwange gubeere ku abo abali mu Bakaludaaya,’ bw'atyo Yerusaalemi bw'alyogera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Siyooni bagambe nti: “Obukambwe obwatukolwako, ka buddire Babilooni!” Ab'omu Yerusaalemu bagambe nti: “Omusaayi gw'abantu baffe ogwayiika, guddire Abakaludaaya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyejo ekyagirirwa nze n'omubiri gwange kibeere ku Babulooni, ali mu Sayuuni bw'alyogera; era Omusaayi gwange gubeere ku abo abali mu Bakaludaaya, Yerusaalemi bw'alyogera.