Jeremiah 51:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Nzija kulondoola ensonga zo, nkuwoolerere eggwanga. Ennyanja nzija kugikaza, ensulo ze nzikalize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama kyava ayogera nti, “Laba ndikulwanirira era ndikuwolerera eggwanga; Ndikaliza ennyanja ye n’ensulo ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'olwekyo bw'ati bw'ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndiwoza ensonga yo, ne nkuwalanira eggwanga. Ndikaliza ennyanja yaakyo, ndifuula ensulo zaakyo ez'amazzi enkalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyeyava agamba abantu b'omu Yerusaalemu nti: “Nja kubalwanirira, era ndiwoolera eggwanga ku lwammwe. Ndikaliza ennyanja y'abalabe bammwe, era ndikaliza ensulo zaabwe ez'amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwoza ensonga yo, ne nkuwalanira eggwanga: era ndikaliza ennyanja yaakyo, era ndimalawo ensulo yaakyo.