Jeremiah 51:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna baliwuluguma wamu ng'empologoma, balivuuma ng'obuwologoma obuto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento, bavuumira wamu ng’abaana b’empologoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baliwulugumira wamu ng'empologoma; era balivuuma ng'empologoma ento.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakaludaaya baliwuluguma ng'empologoma enkulu, era balivuuma ng'empologoma ento.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baliwulugumira wamu ng'empologoma ento; balivuumira wamu ng'abaana b'empologoma.