Jeremiah 51:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bakyabuguumiridde, ndibakolera embaga, ne mbatamiiza okutuusa nga babongoose, olwo beebake emirembe gyonna, tebalizuukuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga bakyabuguumirira, ndibategekera ekijjulo, mbatamiize balyoke balekaane nga baseka, olwo beebake emirembe gyonna nga tebazuukuse,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe balibuguumirira, ndibafumbira embaga, era ndibatamiiza, okutuusa lwe balizirika, era ne beebaka otulo obutaddayo kuzuukuka, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe balina omululu, ndibafumbira embaga, ne mbatamiiza ne basanyuka. Balyebaka obutaddayo kuzuukuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe balibuguumirira, lwe ndifumba embaga yaabwe, era ndibatamiiza, basanyuke, era beebake otulo otutaliggwaawo, so baleme okuzuukuka, bw'ayogera Mukama.