Jeremiah 51:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyanja eyambuse ku Babiloni; abuutikiddwa amayengo gaayo agevvujjuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyanja eribuutikira Babulooni; amayengo gaayo agawuluguma galigisaanikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyanja ekulumulukukidde ku Babbulooni, amayengo gaayo ag'amaanyi, gakibisseeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyanja ekuluggukidde ku Babilooni, amayengo gaayo agawuluguma, gakisaanikidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennyanja erinnye ku Babulooni: olufulube lw'amayengo gaayo lukibisseeko.