Jeremiah 51:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kubonereza Beeli mu Babiloni, mmuwanze ekyo kye yamira. Okuva kati amawanga tegakyamukuluggukirako, ne bbugwe wa Babiloni yagudde dda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibonereza Beri mu Babulooni, mmusesemye bye yali amize. Amawanga nga tegakyesomba kugenda gyali. Ne bbugwe wa Babulooni aligwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibonereza Beeri, katonda we Babbulooni, era ndiggya mu kamwa ke ekyo kye yamira. Amawanga galiba tegakyaddamu kumusinza; bbugwe w'e Babbulooni agudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibonereza Beli, lubaale w'e Babilooni, ne mmuzzisaayo bye yabba. Amawanga galiba tegakyaddamu kumusinza. “Ebisenge bya Babilooni bigudde!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndireeta omusango ku Beri mu Babulooni, era ndiggya mu kamwa ke ekyo kye yamira; so n'amawanga nga tegakyakulukutira wamu gy'a1i nate: weewaawo, bbugwe w'e Babulooni aligwa.