Jeremiah 51:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwammwe guleme kutengera, nammwe temutya; olw'eŋŋambo eziwulirwa mu nsi, anti olugambo olumu lujja mu mwaka ogumu, n'olulala ne lujja mu mwaka omulala; obukambwe buli mu nsi, n'omufuzi omu aggyako omulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temutya wadde okuggwaamu amaanyi ng’eŋŋambo ziyitiŋŋana mu nsi; olugambo olumu lujja omwaka guno, olulala omwaka ogujja, eŋŋambo z’entalo mu ggwanga, era ez’omufuzi ng’alwana ne mufuzi munne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwammwe guleme okuzirika, era muleme okutya olw'ebyo ebiwulirwa mu nsi, bwe munabiwulira mu mwaka ogumu, oluvannyuma mulibiwulira mu mwaka omulala, era obukambwe buli mu nsi, nga omufuzi omu alwana n'omulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuggwaamu maanyi era temutya olw'amawulire ge muwulira mu nsi, kubanga buli mwaka muliwulira amawulire ag'enjawulo, ag'obukambwe mu nsi, n'aga kabaka omu okulwanyisa omulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So n'omutima gwammwe guleme okuzirika, so temutyanga olw'ekigambo ekiriwulirwa mu nsi; kubanga ekigambo kirijjira mu mwaka gumu, era oluvannyuma mu mwaka omulala ekigambo kirijja n'ekyejo mu nsi, owessaza ng'alwana n'owessaza.