Jeremiah 51:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyo kituufu, ennaku zijja lwe nnaabonereza ebifaananyi bya balubaale eby'e Babiloni. Ensi ye yonna erikubwa ensonyi, n'abattiddwa baligaŋŋalama mu makkati ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekiseera kijja lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda ba Babulooni abaakolebwa n’emikono; ensi eyo yonna eritabanguka, n’emirambo gy’abantu baayo abattiddwa gyonna gibeere omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, ennaku zijja, lwe ndibonereza ebifaananyi eby'e Babbulooni, ensi yaayo yonna erikwatibwa ensonyi; n'abaayo bonna abattiddwa baligwa wakati mu kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ekiseera kirituuka, ne nkola ku kusinza ebitaliimu nsa okuli mu Babilooniya. Ensi eyo yonna erikwatibwa ensonyi, n'abantu baamu balittibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ennaku zijja lwe ndireeta omusango ku bifaananyi ebyole ebya Babulooni, n'ensi yaayo yonna erikwatibwa ensonyi; n'abaayo bonna abattiddwa baligwira wakati mu kyo.