Jeremiah 51:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo eggulu n'ensi na byonna ebirimu biriyimba n'essanyu ku Babiloni, kubanga okuva emambuka abazikiriza bamujjira,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu birireekana olw’essanyu olwa Babulooni, abalimuzikiriza balimulumba okuva mu bukiikakkono,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale eggulu n'ensi ne byonna ebibirimu biriyimba n'essanyu olwa Babbulooni; kubanga abazikiriza balijja okubalumba nga bava mu bukiikakkono, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggulu n'ensi na byonna ebibirimu biriyimba olw'essanyu nga Babilooni kizikiriziddwa abantu abaliva mu bukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale eggulu n'ensi ne byonna ebibirimu biriyimba n'essanyu olwa Babulooni; kubanga abanyazi balijja gye kiri okuva obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama.