Jeremiah 51:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babiloni kiteekwa okugwa olw'abattibwa mu Yisirayeli, ng'abattibwa wonna mu nsi bwe baagwa olwa Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa, nga bonna abaafa mu nsi yonna bwe baweddewo olwa Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Babbulooni ateekwa okugwa olw'Abaisraeri abattibwa, bwe kityo e Babbulooni ab'ensi yonna abattiddwa gye baligwira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Babilooni kyatta abantu mu nsi yonna. Kale kaakano Babilooni kya kuzikirizibwa olw'okutta Abayisirayeli abangi. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga Babulooni bwe kyagwisa aba Isiraeri abattibwa, bwe batyo e Babulooni ab'ensi yonna abattiddwa gye baligwira.