Jeremiah 51:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Yisirayeli ne Yuda sibaabuliddwa Katonda waabwe, Omukama w'Amagye; newandibadde nga yo ensi yaabwe ejjudde bisobyo mu maaso g'Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa Katonda waabwe, oyo Mukama Katonda ow’Eggye, wadde ng’ensi yaabwe esingiddwa omusango mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Isiraeri ne Yuda talekeddwayo Katonda we, Mukama w'eggye, naye ensi y'Abakaludaaya ejjudde omusango gwe bazza eri Omutukuvu wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Nze Mukama, Katonda, Nnannyinimagye, ssaabulidde bantu ba Yisirayeli na ba Buyudaaya, newaakubadde nga bazza omusango gye ndi, Nze Omutuukirivu wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Isiraeri talekeddwayo Katonda we, Mukama w'eggye, newakubadde Yuda; ensi yaabwe ng'ejjudde omusango gwe bazza eri omutukuvu wa Isiraeri.