Jeremiah 51:50 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe abawonye ekitala mugende, temwesiisa! Mujjukire Omukama nga muyima ewala, ne Yeruzaalemu abajje ku mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe abawonye ekitala, mwanguwe okugenda! Mujjukire Mukama nga muli mu nsi ey’ewala, mulowooze ku Yerusaalemi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mmwe abawonye ekitala, mugende, temuyimirira buyimirizi! Mujjukire Mukama nga musinziira wala, era muleke Yerusaalemi kijje mu mitima gyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba abantu be abali mu Babilooniya nti: “Muwonye okuttibwa. Kaakano mugende, temulinda. Newaakubadde nga muli wala n'ewammwe, naye mujjukire Nze, Mukama, era mulowooze ku Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe abawonye ekitala, mugende, temuyimirira buyimirizi; mujjukire Mukama nga muyima wala, era Yerusaalemi kiyingire mu mwoyo gwammwe.