Jeremiah 51:52 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno, ennaku zijja, Omukama y'agamba, lwe nnaabonereza ebifaananyi bye ebya balubaale; era mu nsi ye yonna abaafumitibwa balisinda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “lwe ndibonereza ebifaananyi bya bakatonda be, be yakola n’emikono, era mu nsi ye yonna, abaliko ebisago balisinda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, bwe ndimusalira omusango olw'ebifaananyi bye, era okuyita mu nsi ye yonna abaliko ebiwundu balisinda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno, Nze ŋŋamba nti ekiseera kirituuka, ne nkola ku kusinza ebitaliimu nsa okuli mu Babilooni, era mu nsi eyo abaliko ebiwundu, balisinda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ennnaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndireeta omusango ku bifaananyi byakyo ebyole; ne mu nsi yaakyo yonna abaliko ebiwundu balisinda.