Jeremiah 51:53 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babiloni ne bw'anaatumbiira n'atuuka eggulu, n'anyweza eminaala gye emitumbiivu, abalimuzikiriza baliva gye ndi,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire era ne yeenyweza n’ebigo bye eby’amaanyi, ndimusindikira abazikiriza,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde Babbulooni alirinnya okutuuka mu ggulu, era newakubadde yeezimbira ebigo bye ebigumu, naye abazikiriza baliva gyendi ne bamulumba, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Babilooni ne bw'alirinnya okutuuka ku ggulu, ne yeezimbira eyo ebigo ebigumu, era ndisindikayo abantu okukizikiriza. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Babulooni newakubadde nga kirinnye okutuusa mu ggulu, era newakubadde nga kinywezezza entikko ey'amaanyi gaakyo, era naye abanyazi balijja gye kiri okuva we ndi, bw'ayogera Mukama.