Jeremiah 51:55 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama azikirizza Babiloni; eddoboozi lye eddene alisirisizza. Amayengo gaabwe gayira ng'amazzi amangi; eddoboozi ly'okuvvujjuula kwagwo liyira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alizikiriza Babulooni, alizikiza oluyoogaano lwakyo olunene. Amayengo g’abalabe galijja ng’amazzi amangi; okuwuluguma kw’amaloboozi kuliwulirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama afuula Babbulooni ekitagasa, era asirissa eddoboozi lye ery'amaanyi. Amayengo gaabwe gawuuma nga ag'amazzi amangi, era okuleekaana kw'eddoboozi lyabwe kulinyisiddwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nzikiriza Babilooni era nkisirisiza ddala. Amagye gakiyiikamu ng'amayengo agawuluguma, ne gakirumba nga galeekaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Mukama anyaga Babulooni, era azikirizza oluyoogaano olunene okuva mu kyo; n'amayengo gaabwe gawuuma ng'amazzi amangi, era baleeta okuyoogaana kw'eddoboozi lyabwe: