Jeremiah 51:56 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga abazikiriza batuuse e Babiloni; abazira abaliyo bawambiddwa, emisaale gyabwe gimenyeddwa, kubanga Omukama Katonda awoolera eggwanga, talema kuddiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuzikiriza alirumba Babulooni; abalwanyi be baliwambibwa, n’emitego gyabwe girimenyebwa. Kubanga Mukama Katonda asasula, alisasula mu bujjuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga omuzikiriza amutuuseeko, atuuse ku Babbulooni; abalwanyi be bawambiddwa, emitego gyabwe gimenyesemenyese; kubanga Mukama ye Katonda asasula, talirema kukuwa mpeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulabe azze okuzikiriza Babilooni. Abaserikale baamu bawambiddwa, n'emitego gyabwe egy'obusaale gimenyeddwa, kubanga Nze Mukama, ndi Katonda aweera empeera. Ndisasula Babilooni nga bwe kisaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga omunyazi akituuseeko, ku Babulooni, n'abasajja baamu ab'amaanyi bawambiddwa, emitego gyabwe gimenyesemenyese: kubanga Mukama ye Katonda asasula, talirema kuwa mpeera.