Jeremiah 51:57 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nzija kutamiiza abakungu n'abagezi be, era n'abaamasaza be, abaami n'abazira; balyebaka otulo twa mirembe gyonna, tebalizuukuka,” y'agamba Kabaka, Omukama w'Amagye lye linnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi, ne bagavana, ab’ebitongole awamu n’abalwanyi; balyebaka emirembe gyonna era tebalizuukuka,” bw’ayogera Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nditamiiza abakungu baamu n'abagezigezi baamu, abaamasaza baamu n'abasigire baamu n'abalwanyi be; era balyebaka otulo otw'olubeerera, so tebalizuukuka, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nditamiiza abakungu baamu, n'abagezi baamu n'abafuzi, n'abaduumizi b'eggye n'abaserikale. Balyebaka otulo otw'olubeerera, era tebalizuukuka. Nze Kabaka, Mukama, Nnannyinimagye Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nditaamiiza abakungu baamu n'abagezigezi baamu, abaamasaza baamu n'abasigire baamu n'abasajja baamu ab'amaanyi; era balyebaka otulo otutaliggwaawo so tebalizuukuka, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.