Jeremiah 51:58 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Bbugwe wa Babiloni omugazi wa kusendawo, n'emiryango gye emiwanvu gyokebwe omuliro. Abantu bateganira bwereere, n'amawanga geekooyeza si kirala, wabula omuliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti, “Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe; abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba, okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti, Ekisenge kye ekigazi kiriseetezebwa ku ttaka, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro. Abantu bateganira bwereere, n'amawanga geekoyeza bwereere, omuliro gulizikiriza byonna bye gakola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama, Nnannyinimagye, ŋŋamba nti: “Ebisenge bya Babilooni ebigumu, birisuulibwa wansi, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro. Abantu bateganira bwereere, n'amawanga bye gakola, bya kwokebwa omuliro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Babbugwe abagazi b'e Babulooni balisuulirwa ddala, n'emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro; n'amawanga galiteganira obutaliimu, n'ebika biriteganira omuliro; era balikoowa.