Jeremiah 51:59 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubaka Yeremiya omulanzi bwe yawa Seraaya mutabani wa Neriya, mutabani wa Makuseeya, bwe yali agenda e Babiloni wamu ne Zedekiya kabaka wa Yuda, mu mwaka ogwokuna ogw'obwakabaka bwe. Seraaya ye yali omukulu eyakuliranga kabaka w'awummulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yalagira Seraya mutabani wa Neriya, Neriya mutabani wa Maseya, bwe yagenda ne Zeddekiya kabaka wa Yuda e Babbulooni, mu mwaka ogwokuna ogw'okufuga kwe. Era Seraya yali ssaabakaaki omukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza eyabeeranga ku lusegere lwa Kabaka Zeddeekiya, yali Seraya mutabani wa Neriya era muzzukulu wa Maasaya. Mu mwaka ogwokuna nga Zeddeekiya ye kabaka wa Buyudaaya, Seraya bwe yali ng'agenda e Babilooniya wamu ne Zeddeekiya, ne mbaako bye mmulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yalagira Seraya mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni wamu ne Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwaka ogw'okufuga kwe ogw'okuma. Era Seraya yali ssaabakaaki omukulu.