Jeremiah 51:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mudduke, muve mu Babiloni; buli omu awonye obulamu bwe, muleme kuzikirira mu kibonerezo kye. Buno bwe budde bw'Omukama obw'okuwoolera eggwanga; ajja kumuddiza ekimusaanidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mudduke Babulooni. Mudduke okuwonya obulamu bwammwe. Temusaanawo olw’ebibi bye. Kiseera kya Mukama okwesasuza; alimusasula ekyo ekimusaanira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mudduke muve mu Babbulooni wakati, buli muntu awonye obulamu bwe! Muleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu bwakyo, alikisasula empeera ekigwanira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mudduke muve mu Babilooni, buli omu awonye obulamu bwe, muleme okuzikirizibwa olw'ekibi kya Babilooni, kubanga kye kiseera mpoolere eggwanga, era mbonereze ekibuga ekyo nga bwe kisaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mudduke muve mu Babulooni wakati, muwonye buli muntu obulamu bwe; temuzikirizibwa mu butali butuukirivu bwakyo: kubanga bye biro Mukama mw'awalanira eggwanga; likisasula empeera.