Jeremiah 51:60 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya yali awandiise mu kitabo kimu obubenje bwonna obwali bugenda okugwira Babiloni - ebigambo bino byonna ebyawandiikibwa ku Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeremiya n'awandiika mu kitabo obubi bwonna obwali bugenda okutuuka ku Babbulooni, ebigambo bino byonna biwandiikiddwa nga bikwata ku Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mpandiika mu kitabo, ebifa ku kabi konna ak'okutuuka ku Babilooniya, era ne bino ebirala byonna ebifa ku Babilooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeremiya n'awandiika mu kitabo obubi bwonna obwali bugenda okujja ku Babulooni, bye bigambo ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku Babulooni.