Jeremiah 51:62 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo n'ogamba nti: ‘Ayi Mukama, ogambye nti ojja kuzikiriza ekifo kino wabulewo ensolo esulamu oba omuntu asulamu, lisigale matongo ag'emirembe gyonna.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyogere nti, Ayi Mukama, wayogera ebikwata ku kifo kino nti olikizikiriza, obutabaamu akibeeramu, omuntu newakubadde ensolo, naye kibeere matongo ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'olyoka ogamba nti: ‘Ayi Mukama, wagamba nti olizikiriza ekifo kino, ne kitasigalamu kiramu na kimu, k'abe omuntu wadde ensolo, naye kibe matongo ennaku zonna.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyogere nti Ai Mukama, wayogera eby'ekifo kino okukizikiriza omuntu yenna aleme okutuula omwo, omuntu newakubadde ensolo, naye kirekebwewo ennaku zonna.