Jeremiah 51:64 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eno nga bw'olaamiriza nti: ‘Babiloni bwe kirisaanawo kityo; tekiriddamu kusituka olw'akabi nze ke nnaakireetera.’ ” Ebigambo bya Yeremiya wano we bikoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ” Ebigambo bya Yeremiya bikoma awo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era olyogera nti, Babbulooni bwe kirikka bwe kityo, so tekiribbulukuka nate, olw'obubi bwe ndikireetako. Okutuuka wano by'ebigambo bya Yeremiya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'oyogera nti: ‘Babilooni bwe kirikka bwe kityo, era tekiriddayo kubbulukuka, olw'okuzikirira Mukama kw'alikituusaako.’ ” Ebigambo bya Yeremiya wano we bikoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era olyogera nti Babulooni bwe kirikka bwe kityo, so tekiribbulukuka nate, olw'obubi bwe ndikireetako: era balikoowa. Ebigambo bya Yeremiya we bikoma wano.