Jeremiah 51:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babiloni kyali kikompe kya zaabu mu mikono gy'Omukama; kyatamiizanga ensi yonna; amawanga gaanywa ku viini yaakyo, kwe kulaluka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama; yatamiiza ensi yonna. Amawanga gaanywa wayini we, kyegavudde galaluka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Babbulooni kyabanga kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama, ekyatamiizanga ensi zonna; amawanga gaanywa ku mwenge gwakyo; bwe gatyo amawanga ago ne galaluka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Babilooni kyali ng'ekikopo ekya zaabu mu ngalo zange, ekyatamiizanga ensi yonna. Amawanga gaanywa ku mwenge gwakyo ne galaluka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Babulooni kyabanga kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama, ekyatamiiza ensi zonna: amawanga ganywedde ku mwenge gwakyo; amawanga kyegavudde galaluka.