Jeremiah 51:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babiloni agudde mangu n'abetenteka; Mumukubire ebiwoobe! Munoonye amasanda g'eddagala olw'ekiwundu kye, oboolyawo n'awona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka. Mukikungubagire. Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo oboolyawo anaawonyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Babbulooni kigudde mangu ago, era kizikiridde; Mukikungubagire! Mukifunire eddagala olw'obulumi bwakyo, oba mpozzi kinaayinzika okuwonyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Babilooni kigudde mangwago, era kizikiridde. Mukikungubagire. Mukifunire eddagala olw'obulumi bwakyo, oboolyawo kinaawona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Babulooni kigudde mangu ago, era kizikiridde: mukiwowogganire; muddire eddagala olw'obulumi bwakyo, oba nga mpozzi kinaayinzika okuwonyezebwa.