Jeremiah 51:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Twandiwonyezza Babiloni, naye yagaana okuwona; tumuleke, buli omu yeddire mu nsi ye, kubanga omusango gwe gutuuse ne ku ggulu, gutumbidde okutuuka ku bire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Twandiwonyezza Babulooni, naye tayinza kuwonyezeka. Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye, kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula, gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Twandiwonyezza Babbulooni, naye tekiwonye. Mukireke tudde buli muntu mu nsi y'ewaabwe; kubanga omusango gwakyo gutuuse mu ggulu, era gugulumizibwa okutuuka ne mu bire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagwira abakibeeramu baagamba nti: ‘Twandiwonyezza Babilooni, naye tekiwonye. Tukiveemu, buli omu addeyo mu nsi y'ewaabwe, kubanga Katonda abonerezza nnyo Babilooni, era akisaanyizzaawo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Twandiwonyezza Babulooni, naye tekiwonye: mukireke, tudde buli muntu mu nsi y'ewaabwe ye; kubanga omusango gwakyo gutuuse mu ggulu, era gugulumizibwa okutuuka ne mu bbanga.