Jeremiah 52:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zedekiya yafuuka kabaka nga wa myaka abiri mu gumu; mu Yeruzaalemu yafugiramu emyaka kkumi na gumu. Nnyina ye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zeddekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu egy’obukulu we yafuukira kabaka, n’afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yayitibwanga Kamutali muwala wa Yeremiya ow’e Libuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zeddekiya yalina emyaka abiri mu gumu (21) bwe yatandika okufuga obwakabaka bwa Yuda; n'afugira emyaka kkumi na gumu (11) mu Yerusaalemi. Nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zeddeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu gumu we yafuukira kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemu. Nnyina yali Amutali, muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yalya obwakabaka; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna.