Jeremiah 52:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo e Ribula kabaka w'e Babiloni n'attira batabani ba Zedekiya awo mu maaso ge, era n'atta n'abakungu ba Yuda bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka w’e Babulooni n’atta batabani ba Zeddekiya nga kitaabwe alaba; n’atta n’abakungu bonna aba Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka w'e Babbulooni, n'atta batabani ba Zeddekiya, nga Zeddekiya yennyini alaba, era n'attira awo e Libula abakungu bonna aba Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nebukadunezzari n'atta batabani ba Zeddeekiya, nga Zeddeekiya yennyini alaba, era n'attira awo e Ribula abakungu ba Buyudaaya bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka w'e Babulooni n'atta batabani ba Zeddekiya ye ng'alaba: era n'attira n'abakungu bonna aba Yuda e Libula.