Jeremiah 52:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso ga Zedekiya n'agatungulamu, n'amusiba n'enjegere ez'ekikomo, n'amutwala e Babiloni, n'amusuula mu kkomera okutuusa ku lunaku lwe yafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka aggyamu Zeddekiya amaaso n’amusiba mu masamba ag’ebikomo n’amutwala e Babulooni, gye yamuteeka mu kkomera okutuusa lwe yafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'e Babbulooni, n'atungulamu Zeddekiya amaaso; n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babbulooni, n'amuteeka mu kkomera okutuusiza ddala ku lunaku lwe yafiirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atungulamu Zeddeekiya amaaso, n'amusiba mu njegere, n'amutwala e Babilooni. Zeddeekiya n'asigala mu kkomera okutuusiza ddala ku lunaku lwe yafiirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zeddekiya n'amugyamu amaaso; kabaka w'e Baulooni n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babulooni, n'amuteeka mu kkomera okutuusa ku lunaku kwe yafiira.