Jeremiah 52:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayokya Ekiggwa ky'Omukama n'olubiri lwa kabaka n'ennyumba zonna mu Yeruzaalemu; buli kizimbe ekyegasa n'akyokya omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nebukadduneeza n’ayokya yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna eky’omugaso n’akyokya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemi, buli nnyumba yonna ennene yagyokya omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayokya Essinzizo, n'olubiri lwa kabaka, n'ennyumba zonna ez'omu Yerusaalemu. Buli nnyumba ennene yagyokya omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayokya ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka; n'enyumba zonna ez'omu Yeusaalemi, buli nnyumba ennene n'agyokya omuliro.