Jeremiah 52:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye lyonna ery'Abakaludeya eryali n'omukulu w'abakuumi ba kabaka ne limenyawo bbugwe wa Yeruzaalemu ku njuyi zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggye lya Babulooni lyonna eryali liduumirwa omuduumizi w’abakuumi bakabaka ne limenyera ddala ebisenge bya Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali awamu n'omukulu w'abambowa ne bamenya ebisenge byonna, okwetooloola Yerusaalemi enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggye lyonna eryali naye, ne limenya ekisenge kyonna, ekyetoolodde Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eggye lyonna ery'Abakaludaaya abaali wamu n'omukulu w'abambowa ne bamenya bbugwe yenna ow'e Yerusaalemi enjuyi zonna.