Jeremiah 52:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nebuzaradani omukulu w'abakuumi ba kabaka n'atwala abaali basinga obwavu mu bantu n'abalala abaali bakyasigadde mu kibuga, n'abaali beegasse ku kabaka w'e Babiloni, n'abantu abalala abafundi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nebuzaladaani omuduumizi w’abakuumi n’atwala abamu ku baavu ennyo n’abo abaasigala mu kibuga, awamu n’abaweesi n’abaali beewaddeyo, mu buwaŋŋanguse eri kabaka w’e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa, n'atwala e Babbulooni nga basibe abamu ku bantu abasinga obwavu, n'abo abaali basenguse ne baasenga kabaka w'e Babbulooni, n'ekitundu ekyali kisigaddewo eky'abakozi b'emirimu egy'emikono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Nebuzaradaani n'atwala e Babilooni abamu ku bantu abaavu, abali basigadde mu kibuga, n'abo abaali bamaze okwewaayo mu Bakaludaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa nga basibe ku abo abasinga obwavu ku bantu n'ekitundu ekifisseewo ku bantu ekyali kisigadde mu kibuga n'abo abaali basenguse, abaasenga kabaka w’e Babulooni, n'ekitundu ekyali kisigaddewo eky'abakopi.