Jeremiah 52:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakaludeya baamenya empagi ez'ekikomo ezaali mu Kiggwa ky'Omukama, obutandaalo n'Ennyanja ey'ekikomo ebyali mu Kiggwa ky'Omukama, n'ekikomo kyabyo kyonna ne bakitwala mu Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakaludaaya ne bamenya empagi ez’ebikomo, n’ebikondo ebyali biseetulwa, n’Ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu nnyumba ya Mukama ne batwala ekikomo kyonna e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe, n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama, Abakaludaaya ne babimenyaamenya, ne batwala ebikomo byonna e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez'ekikomo, ezaali mu Ssinzizo, n'ebikondo, era n'ettanka y'amazzi ennene, ebyalimu, ne batwala e Babilooni, ekikomo kyabyo kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyaamenya, ne batwala e Babulooni ebikomo byabyo byonna.