Jeremiah 52:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu w'abakuumi ba kabaka era yatwala ebinaabirwamu, ebyoterezo n'ebibya eby'okumansira, entamu, ebikondo by'ettawaaza, ebibya n'essowaani ebikozesebwa ku bitone eby'okuyiwa, na byonna ebyali ebya zaabu omulungi n'ebya ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuduumizi w’abakuumi ba kabaka n’atwala ebensani n’ebibya by’obubaane, n’ebijiiko, n’ebikondo bye ttaala, n’ebibya, n’entamu ebikozesebwa mu kiweebwayo ekyokunywa, byonna ebyali byakolebwa mu zaabu ne ffeeza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batwala ne bikompe n'emmumbiro n'ebibya n'entamu n'ebikondo n'ebijiiko n'obubya; ebyali ebya zaabu, mu zaabu, n'ebyo ebyali ebya ffeeza, mu ffeeza, bwatyo omukulu w'abambowa bwe yabitwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batwala n'ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza, ebibya ebitono, n'ensaniya okuyoolerwa amanda, ebbenseni n'entamu, n'ebikondo by'ettaala, n'ebibya by'obubaane, n'ebikopo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebikompe n'emmumbiro n'ebibya n'entamu n'ebikondo n'ebijiiko n'obubya; ebyali ebya zaabu, mu zaabu, n'ebyo ebyali ebya ffeeza, mu ffeeza, omukulu w'abambowa bwe yabitwala bw'atyo.