Jeremiah 52:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, Ennyanja n'obutandaalo Solomoni bye yali akoledde e Kiggwa ky'Omukama, ekikomo ekyava mu bintu bino byonna, kyalema empima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekikomo okuva ku mpagi ebbiri, n’Ennyanja, n’ennume ekkumi n’ebbiri ez’ebikomo wansi waayo, n’ebikondo kabaka Sulemaani bye yali akoledde yeekaalu ya Mukama, byali bizito nnyo ebitapimika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empagi zombi, ennyanja emu, n'ente ennume ez'ebikomo ekkumi n'ebbiri (12) ezaali wansi w'ennyanja, era n'ebikondo, ebyo kabaka Sulemani bye yali akoze olw'ennyumba ya Mukama, obuzito bw'ekikomo obw'ebintu bino byonna bwali tebupimika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu eby'ekikomo, Kabaka Solomooni bye yakolera Essinzizo: empagi ebbiri, entebe, tanka y'amazzi ennene, n'ente ennume ekkumi n'ebbiri ezigiwanirira, byali bizito nnyo okupima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empagi zombi, ennyanja emu, n'ente ennume ez'ebikomo ekkumi n'ebbiri ezaali wansi w'entebe, kabaka Sulemaani bye yakolera ennyumba ya Mukama: ebikomo eby'ebintu ebyo byonna tebyapimika.