Jeremiah 52:22 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkata ey'ekikomo ku mutwe gw'empagi emu nga ya mikono etaano obuwanvu; yali etoneddwa n'akatimba n'amakomamawanga okwetooloola entwe nga byonna bya kikomo; n'empagi eyookubiri n'amakomamawanga gaakwo yali ewundiddwa mu ngeri ye emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yaliko n’omutwe gw’ekikomo, n’omutwe gumu ng’obuwanvu bwayo nga mita bbiri ne desimoolo ssatu, omutwe nga guliko ebitimbe n’amakomamawanga enjuuyi zonna, byonna nga bya bikomo; empagi eyookubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n’amakomamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku mpagi kwaliko omutwe ogw'ekikomo; n'omutwe ogumu obuwanvu bwagwo emikono etaano, omutwe nga guliko ebitimba n'amakomamawanga enjuyi zonna, byonna bya bikomo, n'empagi eyokubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n'amakomamawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yaliko omutwe ogw'ekikomo; n'omutwe gumu obuwanvu bwagwo emikono etaano, omutwe nga guliko ebitimba n'amakomamawanga enjuyi zonna, byonna bya bikomo: n'empagi ey'okubiri nayo yaliko ebifaanana ebyo n'amakomamawanga.