Jeremiah 52:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amakomamawanga gaali kyenda mu mukaaga ku njuyi zonna. Amakomamawanga gonna awamu gaali kikumi agaali mu butimba okwetooloola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu buli mbiriizi za buli mpagi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga era gonna awamu okwetooloola empagi gaali amakomamawanga kikumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mu mbiriizi za buli mpagi, kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga (96); amakomamawanga gonna gaali kikumi (100) agatimbye buli mpagi okugyetoolooza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu mbiriizi za buli mpagi, kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga. Amakomamawanga gonna gaali kikumi agatimbye buli mpagi okugyetoolooza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku mbiriizi kwaliko amakomamawanga kyenda mu mukaaga; amakomamawanga gonna gaali kikumi ku bitimba enjuyi zonna.