Jeremiah 52:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu w'abakuumi ba kabaka yatwala Seraaya kabona omukulu, Zefaniya kabona owookubiri n'abakuumi b'oku mulyango abasatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuduumizi w’abakuumi n’atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona owookubiri n’abaggazi abasatu nga basibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukulu w'abambowa n'atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nebuzaradaani omuduumizi w'eggye, era yatwala ne Seraya Ssaabakabona, ne Zefaniya, kabona addirira mu bukulu, n'abaggazi abakulu abasatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukulu w'abambowa n'atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona ow'okubiri n'abaggazi abasatu: